Government erangiridde enteekateeka y`okukwasizaako amatendekero g`obwananyini, ng’evujjirira ensimbi okunoonyereza kwebakola.
Government egamba nti ekizudde nti waliwo abagwira abatandise okusasulira okunoonyereza okukolebwa amatendekero g`obwananyini mu Uganda, nti naye ate abayizi byebaba banonyerezaako abazungu bagenda nabyo olwo eggwanga nerisigala nga terifunyeemu.
Minister omubeezi owebyokwerinda era avunaanyizibwa ku nsonga z’abazirwanako Oleru Huda, yayanjudd enkola eno, bw’abadde aggulawo olukuŋaana lwabanoonyereeza olubumbujjira ku Kampala International University e Kansanga, olwetabiddwamu abayivu okuva mu Africa yonna.
Oleru Huda asabye amatendekero g`obwannanyini agetaaga ssente z`okuvujirira okunoonyereza kwabwe, nti bawandiikire government ensimbi zinno zibawebwe.
Mu mbeera yeemu Oleru Huda asabye banoonyereeze ku kizibu kya bannamagye abeyongedde okumaamulaako zi government ensangi zino, nti singa tekinogerwa ddagala kyandifuukira Africa Yonna olunnabe.
Okusinziira ku Amyuka Ssenkulu wa Kampala International University Prof. Mohammed Mpezamihigo, olukungana lunno olutumiddwa International Research and Development Conference, lugendereddwamu okuwabula abanoonyereza ku ngeri gyebasobola okusaliira amagezi ebizibu byebaba banoonyerezaako.
Bisakiddwa: Musisi John