
Government erangiridde mu butongole nti egenda kusazaamu ebyapa byonna ebyafunibwa ku ttaka ly’e Kyangwali mu district ye Kikuube ,egamba nti ababirina babifuna mu lukujjukujju era mu bumenyi bwa mateeka.
Okuva mwaka 2012 ababundabunda okuva e Congo, Rwanda ne district endala bakkirizibwa okubudamizibwa ku ttaka eryo, era abantu abaaliriko ne basabibwa okuvaako.
Kigambibwa nti abantu abo bebamu bakomawo ku ttaka kwebaali, nga bakomezebwawo abaneene mu government okuli ne banabyabufuzi mungeri enkyamu.
Government egamba nti ettaka lino lyabawebwa obwakabaka bwe Bunyoro nga 20 April, 1960, era eririnako ekyapa ekyenkomeredde kya bugazi bwa square milo 56 kweritudde.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire ku media Centre mu Kampala, minister avunanyizibwa ku babundabunda n’ebibamba mu office ya Ssaabaminister Eng .Hillary Onek, annyonyodde nti waliwo abantu 3 abaafuna ebyapa ku ttaka lino, okuva mu office y’ebyettaka mu district ye Masindi mu bumenyi bwamateeka.
Minister agambye nti kuliko Fred Mbambala,Astone Muhwezi ne Festus Akunobere, nti era bebasinze okuvaako emitawaana gyonna egiri ku ttaka eryo, nágamba nti government yakubakwatako ng’amateeka bwegalagira.
Mu ngeri yemu minister Onek alumiriza abakungu mu government okukulemberamu emivuyo gyonna egigenda mu maaso ku ttaka lye Kyangwali.
Minister agamba nti balina enteekateeka ezaakolebwa okugenda ku ttaka eryo, nti naye omuli okusaako amakolero, amasomero, amalwaliro n’e birala.
Kinajukirwa nti ebitongole omuli akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka gwobwa president aka Anti-Corruption Unit, kaliisoliiso wa government, Parliament n’akulira ekitongole kya police ekya Crime Intelligence Brig Christopher Ddamulira baatuukako ku ttaka eryo,nti wabula tewali kyamaanyi kyavuddeyo.
Mu kiseera kino Uganda erina abanoonyi bóbubudamu abawera akakadde kamu némitwalo 600,000 (1.6m) abatudde entende mu nkambi ezénjawulo, wabula waliwo nábalala emitwalo 39, abesozze eggwanga olwókulwanagana okwakabalukawo mu DRC
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru