Government ya Uganda yakendeezezza ku myaka kwetandikira okugema bannansi ekirwadde kya Covid 19 okuva ku 18 okudda ku 12.
Minista w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Achenge agambye nti kino bakikoze kibasobozese okumalawo eddagala eririwo nga terinnagwako nga 31 December.
Government eyagala abantu obukadde buna mu emitwalo kinaana bagemebwe eggwanga liggulwewo, kyokka abantu obukadde busatu mu emitwalo kkuminamunaana beebakagemwa.
Minista era yennyamidde ne ku bulagajjavu bwabantu ku kwetangira ekirwadde.