Abantu abasukka mu 1,2000 baddukidde mu kkooti etaba amawanga g’obuvanjuba bw’afrika nebakuba government ya Uganda ne ginaayo eya Tanzania mu mbuga z’amateeka lwakugobaganyizibwa ku ttaka nga tebeesiikidde kawande.
Wakati w’omwaka gwa 2000 ne 2006 abantu abakunukkiriza mu mitwalo 50,000 abaali babaeera ku lubalama lw’omugga Kagera ku nsalo za Uganda ne Tanzania baafuumulwako eyali president wa Tanzania ebiseera ebyo Jakaya Kikwete okutaasa obutonde bw’omugga ogwo.
Abantu bano abasinga baddukira mu mawanga Uganda, Rwanda, Burundi ne Democratic Republic of Congo.
Abamu ku bantu bani nga bayita mu bannamateeka baabwe aba Mwesigwa Rukutana and Company advocates ne Osh Advocates basazeewo kukuba Government zombiriri (Uganda ne Tanzania) mu kkooti ya East African Court of Justice olw’okutyoobola endagaano y’amawanga agagwa mu mukago guno, n’okutyoboola eddembe lyabwe ery’obuntu.
Mwesigwa Rukutana nga yeyaliko amyuka sabawolereza wa Government ya Uganda akulembeddemu bannamateeka b’abantu bano agambye nti basazeewo okwekubira enduulu mu kkooti ya East Africa oluvannyuma lwa government zombiriri okulemererwa okugonjoola ensonga zino, ez’okuliyirira abantu bano n’okubafunira webabasenza mu mirembe.
Yofesi Karugaba omu ku Batanzania abafuumulwa agambye ntu baalina ebyobugagga byabwe biyitirivu naddala ente, kyokka bwebaagobwa ebintu ebyo byonna Government ya Tanzania yabyeddiza nga kati babundabunda tebaasigaza kintu kyonna.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam