Government eyongezaayo ekisanja ky’abakulembeze b’ebyalo aba LC I, ebbanga lya myezi emirala mukaaga.
Ekisanja ky’emyaka 5 ekya LC I kyali kyagwako nga 10 July 2023, government n’ekyongezaayo emyezi 6, gyaweddeko kati ekyongezaayo emyezi emirala 6.
Emyezi omukaaga egyongezeddwayo gitandika okubalibwa okuva nga 6th January,2024.
Minister wa government ez’ebitundu Rafeal Magyezi abadde ku Media Centre mu Kampala, n’ategeeza nti amateeka gonna gaagobereddwa okwongezaayo ekisanja kino, oluvannyuma lw’olukiiko lwaba minister okuyisa ekiteeso kino mu lukiiko olwatuula nga 18 December,2023.
Magyezi agambye nti entabwe evudde ku bbula ly’ensimbi n’ebikozesebwa ebirala ebyetaagisa okutegeka akalulu k’okulonda obukiiko bw’ebyalo, saako obutali butebenkevu obuliwo mu ggwanga obw’abayeekera ba ADF.
Agambye nti ba ssentebe b’ebyalo betaagisa nnyo mu buweereza obwenjawulo, omuli enteekateeka y’okubala abantu etegekebwa, okuwandiisa abantu abagenda okuyingira amagye n’ebitongole ebirala ebyokwerinda,okufuna passport n’endaga muntu y’eggwanga, saako okutaawulula enkayana z’abatuuze mu byalo n’ebirala.
Bisakiddwa: Musisi John