Government etongoza ekitabo n`obutambi bw’amaloboozi obugenda okuyambako abantu abatalaba n’abatalaba okusoma n`okumanya ebiri mu mbalirira y’eggwanga enatera okuggwako, eya 2023/2024.
Enteekateeka eno ewomeddwamu omutwe ministry y’ensimbi, ng`eri wamu ne UNICEF, Uganda Debt Network, ebibiina ebigatta abantu abatawulira n’abatalaba ekya Uganda National Association of the Blind and Uganda National Association of Deaf.
Omuteesiteesi omukulu owa ministry y’ebyensimbi mu bubaka bwe obusomeddwa Mwanja Paul akolanga akulira enteekateeka y’embalirira y’eggwanga budget, Policy and Evaluation, agamba nti ddembe lyabuli muntu, okumanya ebifa mu mbalirira y’eggwnaga, mu tteeka erya Access to Information Act.
Brenda Hasarama okuva mu kibiina ekitaba abantu abatalaba mu ggwanga, ekya Uganda National Association of the blind, agambye nti basanyufu byansuso olwa government okubajjukira, nti kubanga babadde baasigalira emabega.
Ssenkulu wa Uganda Debt Newtwork Tumwebaze Patrick, agamba nti kibadde kyabulyazamanya okuba nga abantu bano babadde balekeddwa emabega.
Bisakiddwa: Musisi John