Government ekakasizza nti omulimu gw’okuzimba eddwaliro ly’e Lubowa gutuuse ku bitundu 30% era omwezi ogujja ogwa April,2025 omulimu gw’okusereka lwegutandika.
Eddwaliro lino kumpi eribadde lifuuse gannyana ganywebwa muwangaazi lyatandika okuzimbibwa mu butongole nga 10 June, 2019 oluvanyuma lw’omukulembeze w’eggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni okulitemera evuunike ng’ennaku z’omwezi 01 June,2017.
Mu nsisinkano ya minister w’ebyobulamu Dr.Jane Ruth Aceng n’akakiiko ka parliament ak’ebyobulamu etudde ku parliament, minister ategeezeza akakiiko nti eddwaliro lino lisuubirwa okumalirizibwa mu butongole mu June2026 nayenga emirimu egisinga egy’okuzimba gisuubirwa okuggwa mu October,2025.
Aceng agamba nti mukiseera kino ebisulo n’essomero ly’abasawo byo byamaliriziddwa okuzimbibwa era n’ebyetaagisa nebisibwamu , era okutendeka abasawo abanaddukanya egy’obujjanjabi ku ddwaliro lino kwatandise dda.
Eddwaliro lye Lubowa lyabalirirwa okumalawo obukadde bwa ddoola 379.71, naye nga werutuukidde leero nga lyakasaasanyizibwako ensimbi ezissuka mu buwumbi bwakuno 774.4.
Ababaka abawerako bazze bagaanibwa okulirambula, eranga akakiiko ak’ebyenfuna by’enggwanga keekokka akaakkirizibwa gyebuvuddeko okufuna omukisa okulambula eddwaliro erizimbibwa.
Eddwaliro lye Lubowa lyakubeeramu ebitanda 264 ebinaakozesebwa mu kujjanjaba ebirwadde ebikakali ebizze biviirako banna Uganda okutindigga eηηendo okugenda emitala w’amayanja okufuna obujjanjabi.