Government ya Uganda essazeewo okutandika okwenyigira mu mulimu gw’okusuubula amafuta okugaleeta mu ggwanga.
Olukiiko lwa baminister( cabinet) lulagidde Minister avunaanyizibwa ku by’amasanyalaze n’obugagga obw’ensibo Ruth Nankabirwa Ssentamu,okutwala ennoongosereza mu Parliament ezikwata ku tteeka erirungamya okusuubula amafuta erya petroleum supply act.
Minister Ruth Nankabirwa ategezezza Parliament nti ennoongosereza zino wakuzanjula esaawa yonna, kisobozese government okutandika okusuubula amafuta ku ntandikwa y’omwaka ogujja 2024.
Government weviiriddeyo nga bannansi bennyamivu olw’ebbeeyi y’amafuta mu Uganda gyebagamba nti eri waggulu.
Liita ya petrol egula wakati wa shs 5100/= – 5500/= ku masuundiro agenjawulo.
Ate liita ya diesel eri wakati wa shs 4900/= – 5200/=.
Bisakiddwa: Kasaato Fred