Government esazeewo okubbula oluguudo mu balambuzi abaattibwa abateeberezebwa okubeera abayeekera ba ADF mu Queen Elizabeth National Park.
Abaattibwa kwaliko munnansi wa Bungereza n’owa South Africa.
Minister w’amawulire n’okulungamya eggwanga Chris Baryomunsi agambye nti olukiiko lwa ba minister lwasazeewo abantu bano okubbulwamu oluguudo wano mu Uganda, awamu n’okuweereza amabugo eri abenganda z’abagenzi.
Baryomunsi ategeezezza nti entegeka eno ekyakolebwako ababaka ba Uganda mu Mawanga ago, okumanya enkola entuufu erina okugobererwa.#