Government ya Denmark okuyita mu mukago gwa Bulaaya n’ekitongole ekitakabanira eby’obulimi ekya aBi,batongozza kawefube agendereddemu okulwanyisa okutyoboolebwa kw’obutonde mu Uganda n’okwongera ku nnyingiza yaabantu mu maka.
Ensimbi obuwumbi bwa shs 66 n’obukadde 800 zeziwereddwawo mu nteekateeka eno, nga banna Uganda naddala abali mu byobulimi, abasuubuzi n’obulunzi baakuzeewola mu kitongole kya aBi okwekulakulanya.
Obuvujjirizi buno bulangiriddwa omubaka wa Denmark mu Uganda, Signe Winding Albjerg.
Ategezezza nti ekiruubirirwa ky’enteekateeka eno wekukwasizaako abalimi abakunukiriza mu mitwalo 20 okwetoloola Uganda okubayambako okulima ebirime ebireeta ensimbi nga teboononye butonde.
Agambe nti kyenyamiza okulaba nti abalimi ne banna Uganda abalala bakosebwa ebizibu ng’ekyeeya, amataba n’embeera z’obutonde endala, ssonga bisobola okwewalibwa ssinga wabaawo obuvujjirizi obubataasako ebizibu bino.
Felix Okoboi, ssentebe w’olukiiko olufuzi olutwala ekitongole kya aBi, agambye nti ssente zino banna Uganda bakuzeewola okukola emirimu ejiwagira eby’obulimi.
Bisakiddwa: Kato Denis