Government egambye nti terina ssente zakugulira ba ssentebe ba district mmotoka ezokubayambako okuddukanya emirimu, wadde nga yali yazibasuubiza.
Ba ssentebe ba district mu kibiina ekya Uganda Local Government Association, (ULGA), bazze beemulugunyiza ministry ya government ezeebitundu, nti ebasuuliridde.
Ba ssentebe bagamba nti bebatuusa obuweereza obutereevu mu bantu, okusinga nábabaka ba parliament abawebwa emmotoka némisaala emisava, saako ba RDC , wabula bbo ba ssentebe tebafiiriddwako, ekibalemesezza okukola emirimu obulungi.
Minister omubeezi owa government ezeebitundu, Victoria Rusoke Busingye, abadde ku Imperial Royale Hotel nátegeeza ba ssentebe ba district nti ebyókubawa emmotoka empya babyerabire kubanga government terina nsimbi.
Minister abadde ku mukolo ekitongole kya kalondoozi wa government kwasisinkaniddemu abakulembeze ba government zeebitundu, okubasomesa ku bulabe obwokulya enguzi.
Minister Rusoke mu ngeri yeemu agambye nti abakulembeze ba government ezeebitundu basaale mu kulya enguzi, nga waliwo nabawandiikidde ministry eno nga basaba abakungu abamu babakyuse olwokubalemesa enguzi.
Kalondoozi wa government Betty Olive Namisango Kamya Turyomwe, agambye nti bakyalina okusoomozebwa kwókulwanyisa enguzi mu bakungu ba government, nti kubanga bangi basanyaawo obujulizi.
Alipoota ya kalondoozi wa gavumenti eraze nti Uganda, efiirwa obuwumbi obusoba mu 20 buli mwaka mu nguzi.
Ebitongole okuli eky’obutonde bwensi, n’ebyemisolo, ebyóbulamu nébyenjiriza byebisinze okunokolwayo mu nguzi, saako abantu okwebulankanya ku mirimu mu bitongole bya government byonna.