Government ekubye enkyukira ku nteekateeka y’abayizi abaagwa ebigezo bya S.4 mu curriculum enkadde okuddamu okutuula ebigezo ebyenjawulo mu June ne June, 2024, bakubituula omulundi gumu nebanaabwe abasoma curriculum empya mu October ne November 2024.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa ssenkulu wa UNEB Dan Odongo, kitegeezezza nti ministry y’ebyenjigiriza yekenneenyezza entegeka eno nezuula nga government terina bikozesebwa bimala.
Mu ntegeka ebaddewo ey’ebigezo bya June- July, Government yali yeyamye okusasulira ebyetagisa byonna eri abayizi abalina okuddamu okubituula.
Abayizi abasoba mu 12,300 bebaagwa ebigezo by’omwaka oguyise 2023 ku S.4, nga waliwo naabo abasoba mu 2700 abataatuula sso nga baali bewandiisa okubikola.#