Government eyimirizza endagaano eyakoleddwa wakati wa ministry ye by’ensimbi ne kampuni y’o mukyala omu Italy eya Uganda Vinci Coffee Company Limited okusuubula emmwanyi za Uganda, esooke eddemu yekennenyezebwe.
Abantu abenjawulo,abasuubuzi,abalimi,bannakyewa n’obwakabaka bwa Buganda buvumiridde endagaano eno,olw’obuwaayiro obugambibwa nti bwakunyigiriza bannauganda, n’okubalemesa okuganyulwa mu kirime ky’eggwanga ekisinga okuba ekyettunzi.
Endagaano eno ejjidde mu kiseera nga n’ekitongole ky’eggwanga eky’emmwanyi ki Uganda Coffee Development Authority kyakawanduukulula Uganda, mu mukago ogutaba amawanga agasinga okulima n’okutunda emmwanyi ogwa International Coffee Organisation.
Government ng’eyita mu Ministry y’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga, yakola endagaano nga 10 February,2022 ne kampuni ya Uganda Vinci Coffee Company Limited.
Mu ndagaano eno, Kampuni eno yaweebwa obuvunanyizibwa nti yokka yerina okugula emmwanyi okuva mu bannauganda olwo neryoka ezitunda ebweru wa Uganda, ekintu ekyawakanyiziddwa ennyo abantu abenjawulo.
Endagaano eyasembyeyo okukolebwa omwaka guno, yabadde nnyongereza ku buwaayiro obulala obuli mu ndagaano ezaasooka okukolebwa mu April wa 2015 ne October wa 2017 wakati wa government ne kampuni eno ku nsonga yemu.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yoomu ku bavuddeyo okuvumirira endagaano eyakoleddwa, ng’agamba nti yabadde yakulemesa abantu ba Ssaabasajja okweyagalira mu kulima emmwanyi, singa kampuni eno yokka yerekebwa obunaanyizibwa okubagulako.
Minister omubeezi avunanyizibwa ku nsonga za ba musigansimbi, Evelyn Anite ategezzezza CBS nti olukiiko lwa ba minister lwasazzeewo, nti endagaano eno eddemu yetegerezzebwe oluvanyuma lw’okukizuula nti erimu ebirumira bingi.
Minister Anite agambye nti bagenda kuddamu okutuula ku lwokubiri lwa wiiki ejja betegereze kawaayiro ku kawaayiro akakoleddwa mu ndagaano eno.
Minisiter Anite agambye nti wadde ye minister avunanyizibwa ku ba musiga nsimbi, naye endagaano eno yajjekangira mu mawulire ng’emaze okukolebwa n’okussibwako emikono.
Minisiter Evelyn Anite agambye nti obuwaayiro bungi obwatekebwa mu ndagaano eno mu bukyamu, okuli akalaga emirimu eginaweebwa abantu mu kampuni eno, engeri kampuni gyenefunamu amasanyalaze n’engeri gyenesonyibwamu emisolo.
Minister avunaanyizibwa ku bulimi Frank Tumwebaze yakamala okutegeeza, nti naye teyebuzibwako ng’endagaano eno ekolebwa.
Wabula Minisiter avunanyizibwa ku by’ensimbi, Matia Kasaija bweyali ayogera ne CBS wiiki ewedde ku by’endagaano, yategeeza nti kyali tekyetaagisa kwebuuza ku minister w’eby’obulimi.
Yannyonyola nti ministry y’ebyensimbi gyakulembera okukola endagaano eno nayo yali etuukiriza buvunaanyizibwa bwayo,obw’okusobozesa eggwanga okwongera ku nnyingiza y’ensimbi mu ggwanika.
Sipiika wa Parliament Anita Among naye yalagidde akakiiko ka Parliament akavunanyizibwa ku by’obusuubuzi okuddamu okwetegereza endagaano eno, byekanaaba kazudde kabyanjulire parliament.
Minister w’eby’obulimi ku ludda oluwabula government munna NUP era omubaka we Kabonera Dr.Abed Bwanika yagambye nti kiba kikyamu government okuwa obuyinza bwonna obwenkomeredde eri omuntu omu oba kampuni okuddukanya ekirime eggwanga kweriyimiridde.
Ye omubaka wa Parliament owa Mawogola South nga yoomu ku bazze bavumirira endagaano eno, Gorreti Namugga agambye nti endgaano eno esaanye esazibwemu omulundi gumu okusinga okuddawo okujetegereza, nti kubanga terina kyegenda kugasa ggwanga
Guno sigwemulundi ogusoose nga gavumenti ekola endagaano nebamusiga nsimbi ezekimpatiira, nga ne gyebuvuddeko waliwo musiga nsimbi eyaweebwa obuvunanyizibwa bw’okugala n’okutunda ennyama y’ente ebweru w’eggwanga,era naweebwa ne kifo ku luguudo lwe Bombo awaatekebwa ekkolero
Wabula n’okutuusa kati ekkolero lino lyazingama.
Waliwo ne musiga nsimbi eyakwasibwa okuzimba satelite city e Naggulu era n’abantu nebasengulwa ku kifuba, kati emyaka gisoba mu 10, tewali nkulakulana yassiddwawo.
Musigansimbi omukyala omu Italy Enrica Penneti kigambibwa nti ye nnyini kampuni ya Uganda Vinci Coffee company ltd, eyaweereddwa endagaano y’okusuubula emmwanyi za Uganda.
So ng’omukyala yoomu yeyakwasibwa omulimu gw’okuzimba eddwaliro lya Lubowa International specialised hospital,era .government ya Uganda nemwewolera ne sente z’okuzimba,wabula n’okutuusa kati ebirikwatako bikyali bya matankane.