Government eyanjudde enteekateeka namutaayiika ey`okwongera okutumbula eby`obulimi mu ggwanga, etuumiddwa National Wide Farmer’s Mobilisation Campaign, etandikidde mu kitundu Kya greater Mubende Omuli district ye Mubende, Mityana, Kasanda, Kyankwanzi, Kasanda ne Kiboga.
Enteekateeka eno etongozeddwa Ssabaminiter wa Uganda Robina Nabbanja, egenda kutunuulira ebizibu byona ebikyalemeseza ekisaawe kyeby’obulimi n’obulunzi okutumbuka okutuuka ku mutendera government kwebyagala, n’okuwabula abalimi ku nnima etuukaganye n’omulembe.
Mu nteekatrrka eno,, abalimi bagenda kubangulwa ku ngozesa ya technology y’obulimi, bagaziiye amakungula gabwe nga basigadde bakozesa ekifo kyekimu kyebabadde bakoleramu.
Ssabaminiter wa Uganda Robina Nabbanja enteekateeka eno agitoongolezza ku office ze mu Kampala.
Agambye nti ng’asinziira ku kiragiro kya president Museven kyeyayisa mu mwaka ogwa 2022 eky`okusomesa abalimi okufuula obulimi omulimu oguvaamu ensimbi so sikufunamu mmere ya kulya yokka, kuluno ebitongole bya government byonna bigenda ku kolera wamu okutekesa ekiragiro kino mu nkola.
Robina Nabanja agamba nti president yabalagira okubangula abalimi kunkozesa ya tractor n`okufukirira mu kiseera eky’ekyeya, okuwonya abalimi okufiirizibwanga.
Mu nteekateeka eno mulimu n’okusomesa abalimi okwongera omutindo ku birime byabwe.
Ssaabaminiter Robina Nabbanja agamba nti etundutundu lya Greater Mubende, bagenda kulimalamu ennaku 4 okuva ku friday nga 18 okutuuka nga 20 August 2023.
Bagenda kutambula n`olusisirira lwe by`obulamu mwebagenda okukebera n`okujanjaba endwadde ku bwereere.
Minister Omubeezi avunaanyizibwa ku by`obulimi Fred Bwino Kyakulaga, agambye nti bagenda kutambula nabantu bonna abakwatibwako mu by`obulimi, omuli abatunda ensigo, eddagala, tractor wamu nebirala, okusobozesa abantu mu kitundu kino ku bbeeyi eya wansi.
Minister Omubeezi avunanyizibwa ku biggwa tebiraze n’ebibamba Esther Davinia Anyakuni, agambye nti beteeseteese okubangula abalimi ku nkyukakyuka y`obudde nebibamba ebiyinza okubafiiriza amakungula gabwe.
Bisakiddwa: Musisi John