Government ya Uganda efulumizza alipoota ekwata ku mabanja g’eggwanga lino, gaali trillion 73 n’obuwumbi 496 december wa 2021 weyaggwerako.
Amabanja gano gaweza ebitundu 47%, eby’ebyobugagga bw’eggwanga lino.
Alipoota eno yateereddwako omukono minister omubeezi ow’ebyensimbi Amos Lugoloobi ,neweebwa ababaka ba parliament bonna.
Alipoota ennyonyodde nti mu biseera bya covid 19, ebbanja lya uganda lyeyongera okuva ku trillion 57 mu mwaka 2020 okutuuka trillion 73 mu December wa 2021.
Government egamba nti yalina okwewola okuddukanya eggwanga, kubanga mu kiseera ekyo eky’omuggalo gwa Covid 19 emirimu gyali tegitambula, nga n’emisolo gyeveera.
Wakati wa July w’omwaka 2021 ne December 2021 ,government yeewola trillion 6 n’obuwumbi 299.
Alipoota eraze nti amabanja government gezze yewola wano munda mu ggwanga gaweza trillion 27 n’obuwumbi 773.
Sso nga amabanja government gezze yewola okuva ebweru mu mawanga amalala ,n’ebitongole gaweza trillion 45 n’obuwumbi 723.
Ku mabanja gonna Uganda gerina, China yesingako ebbanja eddene liweza ebitundu 73%.
Alipoota eno ejjidde mu kiseera nga parliament yetegereza mbalirira y’eggwanga ey’omwaka 2022/2023 eya trillion 47.
Mu mbalirira eno government yakusaasaanya trillion 15 byebitundu 33% okusasula ku mabanja gezze yewola.