Ministry yebyobulamu eyagala abantu abakkirizibwa okunywa omwenge batandikire ku myaka 21 egy’obukulu mu kifo ky’emyaka 18, okukendeeza omuwendo gw’abavubuka aboononeka olw’okunywa omwenge nga bakyali mu myaka egya wansi.
Minister owebyobulamu ebisookelwako Mragret Muhanga bino abitegeezezza akakiiko ka parliament akolondoola eby’obusuubuzi n’obulamu, akekeneenya etteeka erirungamya enkosesa y’omwenge erya Alcoholic Drink Control Bill 2023.
Muhanga ategezezza nti eteeeka ly’omwenge lisaanye okunyweezebwa wabeewo ebika by’omwenge ebiggyibwa ku katale okutaasa bannauganda abafa olwokukozesa obubi omwenge ogwo.
Mungeeri yeemu Minister Margret Muhanga ategezeezza nti government asaasanya ensimbi ezisoba mu buwumbi 600 okujanjaba abantu abakosebwa Omwenge buli mwaka.
Dr Joseph OKwale avunanyizibwa ku kitongole ekikwasisa amateeka g’ebyobulamu mu Ministry y’ebyobulamu ategezezza akakiiko kano nti baliko okunoonyereza kwebakoze nebakizuula nti abantu bwebatandiika okunywa omwenge ku myaka emito kikosa obwango bwabwe.
Wabula ababaka okubade omubaka wa Buhweju County Francis Mwijuki ne Athedra Ronald Olema omubaka wa Luo Madi benyamidde nti singa etteeka lino liyisibwa, kyakufiiriza abantu abafuna ensimbi mu mwenge naddala abayiisa omwenge mu masoso gebyaalo
Amyuka Ssentebe wa Kakiiko kano Omubaka Omukyaala owa District ye Omoro Catherine Lamwaaka alagidde abakulu mu Minsstry y’ebyobulamu okutwalira akakiiko ebikwata kukunoonyereza kwebakoze n’ebibalo kwebasinzidde okulinnyisa emyaka egikkirizibwa okunywa omwenge okuva ku 18 okudda ku 21.
Bisakiddwa: Edith Nabagereka