Government okuyita mu Ministry y’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga efulumizza ensimbi trillion 7 n’obuwumbi 687, ezigenze okuddukanya emirimu mu bitongole ebyenjawulo.
Ensimbi zino zakusaasanyizibwa mu myezi 3 ez’ettunduttundu eryokuna erisembyeeyo ery’omwaka gwebyensimbi 2023/2024.
Trillion 1 n’obuwumbi 872 zigenze kusasula misaala gy’abakozi ba government songa obuwumbi 529 zigenze mu nteekateeka ya parish development model, neziwera ensimbi trillion 1 n’obuwumbi 59 government zeesindiise mu nteekateeka ya parish model mu mwaka gwebyensimbi guno 2023/2024.
Obuwumbi 312.291 government eziwaddeyo eri ebitongole byaayo okusasula akasiimo kabaaliko abakozi baayo okuli Pension ne Gratuity.
Obuwumbi 239 bugenze mu government ez’ebitundu nga kuliko obuwumbi 109 ezigenda mu masomero ga government eza capitation grant ez’olusoma lw’omwaka olwokubiri.
Obuwumbi 189 zigenze mu kitongole kya Uganda Road Fund okuddaabiriza enguudo, obuwumbi 90 zisindiikiddwa mu kitongole ky’eggwanga ekivunanyizibwa ku kugula eddagala mu malwaliro ga government ki National Medical store.
Amagye gaweereddwa obuwumbi 312.
Police ewereddwa obuwumbi 60, ekitongole kyamakomera kifunye obuwumbi 72 songa ebitongole ebikessi okuli ekya ISO ne ESO bifunye obuwumbi 52.
Parliament eweereddwa obuwumbi 156 , essiga eddamuzi lifunye obuwumbi 31 songa office ya Ssabalondoozi w’ebitabo bya government efunye obuwumbi 19.52 billion.
Obuwumbi 364 bugenze mu kitongole kya UNRA okusasula ba kontulakita abakola enguudo.
Okutwaaliza awamu, mu mwaka gwebyensimbi guno 2023/2024 government esaasaanyizza ensimbi trillion 7 n’obuwumbi 513 okusasula emisaala, ensako yabakozi ba goverrnment nakasiimo kabaaliko abakozi baayo.