Government ewaddeyo obukadde bwa shs 5 eri buli maka agaafiiriddwa abayizi 41 ku ssomero lya Mpondwe Lhubiriha Secondary School.
Dr. Dennis Mugimba omwogezi wa Ministry y’eby’enjigiriza mu ggwanga ategezezza nti ensimbi zino zakuyambako mu nteekateeka z’okuziika.
Abayizi abali mu malwaliro 4 abapooca n’ebiwundu bbo baweereddwa obukadde bwa shs 2 buli omu.
Ensimbi zino zeetikiddwa minister omubeezi ow’ebyenjigiriza ebyawaggulu Dr.J.C Muyingo akiikiridde minister w’eby’enjigiriza n’emizannyo Janet Kataha Museveni n’omuteesiteesi omukulu mu ministry y’eby’enjigiriza Ketty Lamaro.
Okusinziira ku RDC we Kasese Joe Walusimbi, omuwendo gw’abayizi omutuufu abaawambiddwa gukyatankanibwa wabula nga gulowoozebwa okubeera mu 6.
Omuduumizi w’ekibinja ky’amagye go mu nsozi ekya Mountains Brigade Dick Olumu asabye abantu okwenyigira mu kawefube w’okulwanyisa ebikolwa eby’ekitujju nga bayita mu kubeera obulindaala n’okulonkoma abantu bebabeera tebamanyi mu kitundu.
Abateeberezebwa okubeera abayeekera ba ADF baalumbye essomero lya Mpondwe Lhubiriha mu district ye Kasese nebasanjaga abayizi n’okukuma omuliro ku bisulo byabwe nebafuuka bisiriiza.
Abayizi abasinga baabadde tebakyategeerekeka, okuzuula abenganda zabwe basoose kukeberebwa ndagabutonde olwo emirambo gyabwe negiwebwayo giziikibwe.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico