Government ya Uganda ng’eyita mu minisitry yeby’enguddo egguddewo ettendekero ly’abavuzi ba tractor ezikola enguuddo ( Road Equipment Operators) erisookedde ddala mu gwanga.
Ettendekero lino liwemmense obukadde 2.34 eza dollah ezaawebwayo government ya Japan (Grant).
Bw’abadde aggulawo ettendekero lino erya Mechanical Engineering Training and Advisory Center (METRAC) minister omubeezi oweby’enguudo Fred Byamukama ategezezza nti government egenda kufuna ku buwelero olw’ensimbi enyingi ezibadde zisaasanyizibwa ku byuma nga bifa olutatadde, olw’ababivuga obutaba nabukugu bumala.
Ettendekero lino ligenda kutandika n’abayizi 50 okuva mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo abalina ebbuluwa ya siniya eyokuna.
era Byamukama ategezezza nti abayizi abanaaba bakuguse bajja kuwebwa empapula eziraga obuyigirize bwabwe (certificate) kibasobozese n’okusaba emirimu ewalala.
Bisakiddwa: Taaka Conslata