Government etaddewo ekittavu ky’ensimbi mwegenda okuyita okukwasizaako amasomero gaayo naddala aga primary, okufunira abaana eby’okulya nga bali ku ssomero.
Mu nteekateeka eno etuumiddwa National school feeding program, government yakuwa ensimbi amasomero mu bitundu ebyenjawulo, okusimba emmere abayizi gyebanaalya ku masomero.
Mu nkola eno, government yakwetegereza emmere n’emirimu ejisiinga okukolebwa mu kitundu, olwo essomero eririmu liweebwe ensimbi ezikola emirimu egyo, okugeza okulunda ente, abayizi banywemu amata, oba okusimba muwogo oba amatooke gwebanaalya nga bwekola ku nkola eya Capitation Grant.
Okunoonyereza kwazuula nti baana bangi basiiba ku masomero nga tebalina kyebalidde ekiviirako emisomo gyabwe okusereba, okukonziba n’okwetamwa okusoma.
Minister w’ebyenjigiriza n’ebyemizanyo era mukyala w’omukulembeze w’eggwanga, Janet Kataha Museveni, yasinzidde mu maka g’obwa president e Nakasero, n’agamba nti omwaka gw’ebyensimbi ogwa 2025/2026 wegunagwerako ng’enteekateeka eno etandise okuteekebwa mu nkola era batandise okujigezesa.
Dr. Denis Mugimba, avunanyizibwa ku byamawulire mu ministry yeebyenjigiriza agambye nti enteekateeka eno baamaze n’okujibalirira omutemwa gw’ensimbi ogunakozesebwa, era bjisuubiramu ebibala mu myaka 3 ejijja mu maaso.
Agambye nti bamaze n’okubaga amateeka aganaagobererwa mu kuteekesa mu nkola enteekateeka eno mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Bisakiddwa: Ddungu Davis