Ngénsi yonna yeteekerateekera okukuza olunaku lw`okukuuma obutonde bwensi munsi yonna olugenda okukwatibwa nga 02.February 2023, government ya uganda etegezezza nti ebyapa byéttaka ebisoba mu 300 ebyábantu abesenza mu ntobazi bimaze okusazibwamu, mu kawefube wókuzzaawo obutonde bwénsi obutaaguse.
Minister omubeezi ow`obutonde bwensi Beatrice Atim Anywar, agambye nti okuva lwebaatandika ebikwekweto ku bantu abafuna ebyapa mu ntobazi mu ngeri y`olukujukujju, ebyapa ebisoba mu 300 bisaziddwamu ate ebyapa 3000 biri mu ministry y’ebyettaka bikyanoonyerezebwako.
Anywar agambye nti n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bwensi ekya NEMA bakiwadde ekiragiro, obutaddamu kuwa lukusa bamusiga nsimbi kusenga mu ntobazi nga bazimbamu amakolero.
Beatrice Anywar agamba nti abantu bonna abasanyawo entobazi abatanakwatibwako tebeyibaala, obudde bwona ebikwekweto bijja.
Bisakiddwa: Musisi John