Government kyaddaaki esazeewo nti kasasiro yenna akungaanyizibwa mu Kampala, okugira ngáyiibwa e Menvu ekisangibwa mu Nansana municipality, ngékifo ekyo kyagulibwa Nansana municipality erinako yiika 21 ne Kira Municipality erinako yiika 10.
Ekifo kino kisaliddwawo mu lukiiko lwa baminister n’abakulembeze b’ebitundu ebiriraanye Kampala olutudde mu offiisi ya ssabaminister nga lukubiriziddwa omumyuka asooka owa ssaabaminister Rebecca Alitwala Kadaga.
Mu lukiiko olwo abakulu bakkaanyizza nti kasasiro tebakyayinza kumuyiwa mu bitundu byEntebbe olw’obuvunyanyizibwa bwekitundu kino, saako obukyafu okukulukutira mu nnyanja.
Olukiiko luno luwadde Kampala Capital City Authority obuvunannyizibwa obwókukola ekkubo erigenda e Menvu, oluvannyuma lwokusika omuguwa okubaddewo wakati wa mayor wa munisipaali ye Kira ne Nansana.
Ba Meeya bonna omuli owe Kira Mutebi Nsubuga ne Moses Kanaala amyuka mayor we Makindye Ssaabagabo, bakkirizza kasasiro atwalibwe mu bitundu bye Menvu okuyamba abantu.
Wabula ye Mayor wa Nansana Regina Nakkazi Bakitte Musoke takkaanyizza na kya kuyiwa Kasasiro mu kitundu kye Menvu nti kubanga kiri mulutobazi.
Kigambibwa nti ekifo kino kyali kyagulibwa okussaawo ebyuma ebisobola okusunsula kasasiro ono mu ngeri ey’omulembe etayonoona butonde bwansi, nti kiba kikyamu okukkiriza okumala gayiwayo kasasiro mu kiseera kino ng’ekifo tekisoose kutegekebwa bulungi.
Ba minister bategeezezza nti enteekateeka y’okutereeza ekifo kye Kiteezi yakukolebwako mu maaso.
Gyebuvuddeko e ggwanga lya ggwamu ensasagge Kasasiiro e Kiteezi bweyabumbulukuka natta abantu abasoba 34.
Waliwo ebiteeso bingi ebizze bireetebwa abakulembeze n’abakugu abenjawulo, nga bagamba nti abantu abaliraanye Kiteezi basaanye baliyirirwe n’okutwalibwa mu kitundu ekirala, olwo Kiteezi afuuke ekifo eky’olukale ekiyiibwamu kasasiro wa Kampala, Wakiso, Mukono n’Entebbe, mukolebwemu ebintu ebirala eby’omuwendo ng’amasannyalaze.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif