Government ebaze ebbago ly’etteeka lyetuumye explosives Bill 2023 erigenda okulungamya ,okukola, okutereka , okuyingiza mu ggwanga n’okukozesa obuganga oba ebintu byonna ebibwatuka nga byefaanaanyirizaako bbomu.
Ebibwatuka bino ebyogerwako kuliko ebikozesebwa mu kusima eby’obugagga ebyomuttaka nga okwasa amayinja nebirala.
Minister w’ensonga zomunda mu ggwanga Maj Gen Severino Kahinda Otafiire agambye nti mu nteekateeka eno, government eyagala amagye gegaba gatereka ebibwatuka bino singa bibeera biyingiziddwa mu ggwanga, gabiweeyo eri bannyini byo nga bituuse okukozesebwa.
Minister Otafire agambye nti singa omuntu ayingiza ebibwatuka bino mu ggwanga n’abiragajjalira nebikozesa obubi nga tagoberedde kulungamya okunaabeera mu tteeka lino ,ebibwatuka ebyo nebitta abantu ,omuntu oyo wakusibwanga mayisa.
Amakolero ewakolerwa fire works nago government egamba nti amaggye gegagenda okugakuuma.
Etteeka lino, government esuubirwa okulyanjula mu parliament nga 15 August, singa tewabaawo kikyuuse.#