Government erumirizza abagivuganya nti okukozesa kyeyisa obulimba bw’abantu abagambibwa okuwambibwa nebabuzibwawo, okuttatana ekifaananyi kyayo eri ensi.
Minister omubeezi ow’ensonga zomunda mu ggwanga Gen David Muhoozi bino abitadde mu alipoota mulindwa ekwalata ku bantu abagambibwa nti baawambibwa ebitongole bya government, gyasoomedde parliament.
Ababaka b’oludda oluvuganya government baasalawo okwesamba entuula za parliament okumaka ebbanga lyamwezi mulamba oguyise okutuusa nga government ereese alipoota ku bantu abazze babuzibwawo.
Wabula alipoota ya Minister Gen Muhoozi egambye nti ku bantu 18 oludda oluvuganya berulumiriza nti goverment beyabuzaawo, baakola okunoonyereza mu bitongole byayo naddala NIRA nekizuula nti abantu 9 bokka bebamanyiddwa mu kitongole Kya NIRA ekiwandiisa abantu era nti batuufu bannayuganda abalala 9 bampewo.
Minister Muhoozi abuulidde parliament nti abantu abo bonna, government yakola okunoonyereza wabula abooluganda lwabwe baagaana okukolagana nebitongole bya government ,songa n’oludda oluvuganya government lwagaana okuwaayo ebikwalata ku bantu abo.
Okusinziira ku Gen Muhoozi, government yakizudde nti abagivuganya bakozesa eky’okubuzaawo abantu ng’akakodyo kokukyayisa government nokufunirako abawagizi babwe ebiwandiiko ebibatwala munsi endala okufuna obutuuze.
Ku nsonga yabannnasi abattibwa mu kiseera kyokwekalaakaa mu Kampala mu November wa 2020, Gen Muhoozi agambye nti government ekyekeneenya ebibakwatako ebaliyirire.
Okunonyereza ku mmotoka kabangali ya Police 999 namba 17 eyalabwako ngekuba amasasi mu bantu ,police yalemererwa okufuna ennamba yaayo entuufu n’ebijikwatako.

Ku nsonga y’okuttibwa Kwa Ritah Nabukenya, Gen Muhoozi agambye nti government yanoonyereza wabula neremerwa okuzuula ekyavaako okufa kwe, nti n’omusirikale w’emmotoka eyogerwako kabangali ya Police eyamutomera ,yakwatibwa wabula obujjulizi nebubula naayimbulwa.
Okuffa Kwa Frank ssenteza eyali omukuuma wa president wa NUP, Gen Muhoozi agambye nti Ono yawanuka ku mmotoka naagwa naafa teyatomerwa mmotoka y’amaggye nga bwebyogerwa ekibiina ki NUP.
Akulira oludda oluvuganya government Owek Mathias Mpuuga Nsamba oluvanyuma lwokwanjulwa kwa alipoota eno, asabye sipiika amukkirize agyanukule ku lunaku lwa Tuesday nga 05 December,2023 ,wabula abuulidde bannamawulire nti teriimu makulu yadde.#