Government nate ezizaayo mu parliament amabago g’a mateeka agenjawulo, nekigendererwa eky’okugatta ebimu ku bitongole byayo, n’ekigendererwa eky’okukendeeza ensaasaanya y’ensimbi.
Buli bbago erikwata ku kitongole goverenment kyeyagala okugatta oba okugyawo, buli limu eryanjudde lyetengeredde sso kugatta mu mugendo nga bweyali ekoze mu kusooka.
Mu mbeera yeemu, amabago gano buli limu government eriwerekezaako ekiwandiiko ekiva mu ministry y’ebyensimbi n’okuteekerateeekera eggwanga (certificate of financial implication) ekiraga obulabe oba ebirungi ebikwata ku byenfuna by’eggwanika ly’eggwanga.
Mu kusooka, government yali etutte certificate emu ng’egatta amabago gonna ,wabula parliament negagoba.
Ennoongosereza mu mabago agaziddwayo, kuliko eryasaawo ekitongole ekirunganya ebitongole by’obwannakyewa ki Non Governmental Organisation, erya Ware House Reciepts System n’etteeka erya Children’s Act eryasaawo ekitongole ky’abaana.
Amalala kuliko eryasaawo ekitongole ky’emwaanyi ki Uganda Coffee development Authority ,eryasaawo ekitongole Kya ppamba ki Cotton Development Authority , eryasaawo ekitongole ky’amata ki Dairy Development Authority n’etteeka eryasaawo ekitongole kya NAADS n’ebirala.
Minister omubeezi ow’ebyensimbi Henry Musaasizi abuulidde parliament nti certificate of Financial Implication ereeteddwa ku mabago g’amateeka ago, ennyonyola kalonda yenna parliament gweyali
yebuuza mu kusooka.
Amabago gano,gasindiikiddwa eri obukiiko bwa parliament obwenjawulo bugekeneenye.