Government n’olukiiko olukiiko olukulembera Jinja municipality bakkiriza ekivvulu ekimanyiddwa nga Nyegenyege okuddamu okutegekebaa mu bitundu bye Jinja, wadde ng’abamu ku bannauganda bakivumirira nti kisiga obuseegu.
Omwaka gwa 2022 ekivvulu kino kyaliko okusika omuguwa wakati wa parliament n’essiga lya government effuzi, nga parliament egamba nti kisiga obuseegu, so nga government eganba nti kisobola okulungamizibwa nti kubanga kireeta ensimbi n’okusikiriza obulambuzi.
Oluvanyuma lw’okuyisa etteeka erikugira omukwano ogw’ebikukujju, waaliwo ebigambibwa nti ekivvulu kino kigenda kutwalibwa mu Kenya, nga waliwo abagamba nti eteeka ligendereddemu kulemesa bantu abenyigira mu kivvulu kino, kyokka abateesiteesi bakyo kyebawakanyizza.
Nyege Nyege Festival 2023 aba Jinja City Council nga bakulembeddwamu meeya wa Jinja,Kasolo Peter, Derek Debru, omutandisi wekkivvulu kino, Robert Nsibirwa okuva mu kampuni ya Uganda Breweries Limited, (LTD), ne Aly Alibhai ssenkulu wa Talent Africa bagambye ekivvulu omulamwa gwakyo sigwakusiga bukyayi.
Nyegenyege 2023 kitandika okuva nga 9 okutuuska nga 12 November.
Kyakuyindira ku bwagaagavu bw’ettaka lya yiika 50, eririraanye ekibangirizi byomwoleso ogwebyobulimi e Jinja, Jinja Golf Course, embalama z’omugga Nile (Source of the Nile), ne ku Source Gardens.
Mayor we Jinja Kasolo Peter agambye nti ekivvulu kino omwaka oguwedde kyetabamu abantu abaasoba mu 15,000 nga 10,000 baali banna Uganda, 3,000 banna Kenya naabalala 2,000 baava mu mawanga amalala ag’abazungu era nti kyayambako okutumbula business nebyenfuna bya banna Uganda bangi.
Derek Debru, omutandisi wekkivvulu kino agamba nti omwaka guno basuubira wooteri eziwerako okusuza abantu, era nti bakutambulira ku mulamwa ogw’engeri abantu gyebakyusizzaamu obulamu bwabwe okuyita mu kukozesa ebitone n’okuyimba.
Nsibirwa Robert, akulira ba kitunzi ba kampuni ya Uganda Breweries Limited, agambye nti beegatta ku kivvulu kino kubanga kirimu obuyiiya nokwolesa emisono egyenjawulo emipya mu katale ka Art n’okufunira banna Uganda emirimu.
Bisakiddwa: Ddungu Davis
Ekifaananyi: Kirabira Fred