Government ng’eyita mu kitongole kya Microfinance support Center ejjuludde obuwayiro námateeka agafuga ebibiina by’e Myooga byonna mu ggwanga.
Obuwaayiro obujjuliddwa mulimu okuggyawo ebbanga ery’e Myezi 4 kwebalina okuddiza ensimbi zebewoze,saako okuggyawo emisingo gyonna egibadde gisabwa buli muntu okuwolebwa ensimbi mu bibiina byabwe námateeka amalala.
Obulala mulimu okuwanduukulula abakulira eby’ensimbi [Commercial Officer]mu District zonna mu ggwanga ku lukalala lw’abantu abalina okussa omukono ku nsimbi z’ebibiina bino okuva mu Bank mwezaaterekebwa.
Minister omubeezi ow’ebyensimbi avunaanyizibwa ku bibiina byóbwegassi Hajji Kyeyune Haruna Kasolo bw’abadde alambula emirimu gy’ebibiina mu Constituency ya Bugangaizi South alagidde nti amateeka gano gateekebwe mu nkola bunnambiro, okuyambako ebibiina byonna okuddukanya emirimu gyagyo awatali kukugirwa.
Ambassador Agness Kalibbala member wólukiiko olufuzi olukulembera ekitongole kya Micro Finace Support Center ategezezza nti bakwongera okukyusa amateeka ne biragiro ebirala okulungamya ebibiina by’eMyooga mu ggwanga ng,a basinziira ku kusaba kwa banna bibiina bino .
Bisakiddwa: Ssebuliba William