Kyaddaaki Government eddukidde mu kkooti ensukkulumu ng’ewakanya ekya kkooti etaputa semateeka gyebuvuddeko okulangirira nti okulima, okusuubula n’okukozesa ekirime ky’enjaga n’amayirungi mu ggwanga nti ssi musango nti kubanga tewali tteeka libikugira.
Ku ntandikwa y’omwezi oguyise ogwa May, abalamuzi 5 aba kkooti ya semateeka abakulemberwamu amyuka Ssaabalamuzi Richard Buteera, básazaamu etteeka erya Narcotic Drugs and Psychotropic Substances Control Act 2015, eribadde ligufuula omusango okukozesa ebirime ebyo mu ggwanga.
Mu nnamula yabwe, abalamuzi baategeeza nti etteeka lino bweryali liyisibwa parliament, tewaali kugoberera mateeka agagifuga okuli n’omuwendo gw’ababaka abessalira abaali bateekeddwa okusemba etteeka lino.
Kyokka Ssaabawolereza wa Government Kiryowa Kiwanuka awandiikidde kkooti ensukkulumu nagimanyisa nti agenda kujulira ensala eno, kubanga erimu ebituli bingi olw’ensonga nti etteeka lino lyayisibwa omuwendo gw’ababaka ba parliament gumala nga semateeka bw’alagira.
Mu 2017 abalimi b’amayirungi ebegattira mu kibiina ekya Wakiso Miraa Growers and Dealers Association baaddukira mu kkooti ya semateeka, nebaloopa government ya Uganda nga bawakanya okuwera ekirime ekyo.
Baategeeza nti okusinziira kukunoonyereza kwebaakola, amayirungi ddagala eriwedde emirimu, sso si biragalagala nga Government bwekkaatiriza.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam