Government ya Uganda egumizza bannauganda abatwala eby’amaguzi byabwe mu America okusigala nga bagumu, wadde nga America erangiridde nga bweteekateeka okubagoba mu katale ka AGOA omwegattira amawanga ga Africa agatwala ebyamaguzi mu America aka African Growth and Opportunity Act .
President wa Amercia Joe Biden yategeezezza nti atandise ku nteekateeka y’amawanga ga Africa agamu mu katale ka AGOA okuli Uganda, Niger, Garbon ne Central African Republic olw’ebikolwa ebityobola eddembe ly’obuntu ebikolwebwa ku bannansi.
Mu bbaluwa ya Biden agamba nti wadde ensisinkano eziweerako zibaddewo n’abakulu abakwatibwa ensonga mu mawanga ago, kyokka okutyoboola eddembe ly’obuntu kweyongera bweyongezi.
Okusinziira ku Joe Biden mu bbaluwa gyawandiikidde speaker wa parliament ento eya America ategezezza nti enteekateeka eno egenda kutandika mu butongole ng’ennaku z’omwezi O1st January, 2024.
Wabula era kigambibwa nti n’etteeka eritangira ebisiyaga, president Museveni lyeyasaako omukono gyebuvuddeko lyerimu kukanaaluzaala aviiriddeko America okufuumula Uganda mu katale ka AGOA.
Akatale ka AGOA government ya America yakatandikawo mu mwaka 2000, nekigendererwa eky’okusobozesa amawanga ga Africa okutunda ebyamaguzi mu katale ka America ewatali misoso.
Okusinziira ku biwandiiko bya ministry y’ebyobusuubuzi etwala enteekateeka ya AGOA Uganda mu mwaka 2019/2020 yatwala ebyamaguzi ebibalirirwamu obuwumbi bwa shs 13 mu katale ka America mu nteekateeka eno eya AGOA
Mu mwaka 2021, ebyamaguzi ebyabalirirwamu obuwumbi 20 byebyatwalibwa mu America mu nteekateeka yeemu eya AGOA.
Minister w’ebyenfuna n’okuteekerateekera eggwanga Matia Kasaijja agumizza bannauganda naddala abasuubuzi nti waliwo enteekateeka ezikolebwa okutaasa embeera singa America eneeba esazeewo bwetyo.
Wabula Kasaija agambye nti waliwo n’okwogerezeganya ne ggwanga lya America okuzaawo omukwano gwabwe nga bwegwali edda okugenda mu maaso, era basuubira gwa wakuvaamu ebibala.
Kinajukirwa nti gyebuvuddeko ne banka yensi yonna yalaangirira nga bweyimirizza okuwola Uganda, olwokutyobola eddembe lyobuntu, kyoka kino kyajjawo oluvanyuma lwa president okussa omukono ku tteeka eritangira omukwano ogwebikukujju.#