¹Government esazeewo okusala ku bbeeyi ya data akozesebwa ku mitimbagano, okusobozesa bannauganda abawera okugwettanira.
Okunoonyereza okwakasembayo okukolebwa kulaga nti bannauganda ebitundu 4.3 % bokka bebakozesa internet, ku bannauganda bonna abasoba mu bukadde 45.
Kigambibwa nti embeera eno eva ku bbeeyi ya data neeye ssimu okuba nti ekyali waggulu.
Minister wa technology n’ebyempuliziganya Chris Baryomunsi agamba nti baliko enkolagana governmnent gyeyakoze ne kampuni y’essimu eya Techno Mobile okuleeta essimu ezisobola okukwatibwa abantu abangi ku bbeeyi ensamusaamu.
Mu ngeri yeemu asuubizza nti government yasazeewo n’okusala omusolo ogugibwa ku data, okutandika nga 01 July,2023.
Minister Baryomunsi abadde ku mukolo kampuni ya Techno Mobile kweyatoongolezza essimu kika kya Canon 20 #