Government yakuddamu okuggala olutundo lwe Karuma olugatta ekitundu ky’obukiika kkono bwa Uganda n’amasekkati, n’ekigendererwa eky’okeongera okuluddaabiriza lusobole okuyitako ebimmotoka ebinene.
Mu kiseera ky’okuddaabiriza tewali mmottoka yonna egenda kukkirizibwa kukozesa lutindo luno.
Lugenda kussibwamu empagi bwaguuga okuwanirira olutindo luno okulusobozesa okuyitako emmotoka zonna.
Minister w’ebyentambula n’enguudo Gen Edward Katumba Wamala mu kiwandiiko kyafulumizza agambye nti olutindo luno lugenda kuggalwa okumala ennaku 31, okuva ng’ennaku z’omwezi 10 March,2025 okutuusa ng’ennaku z’omwezi 31 omwezi gwe gumu.
Gen Katumba Wamala agambye nti mu kiseera ekyo waliwo okuddaabiriza okwomuggundu okugenda okukolebwa ku lutindo olwo ,kisobozese emmotoka zirukululana okuddamu okulukozesa
Olutindo lwe Kaluma government yali yaluggala mu mwaka 2024, wabula neruggulawo mu december w’omwaka gwe gumu eri emmotoka entono zokka.
Zirukululana zibadde zikozesa oluguudo lwa Kampala -Lira okuyita e Iganga, Nakalama- Tirinyi- Palisa -Kumi – Soroti okutuuka e Lira saako olwa Kafu- Masindi
Ministry yebyentambula ewabudde ab’ebibudduka okukozesa enguudo endala okuli olwa Kafu- Masindi okuyita mu Murchison falls National park oba okukozesa oluguudo lwa Kampala – Lira okuyita e Iganga.#