Abatuuze ku mwalo gwe Kibuye mu gombolola ye Bukamba mu district ye Kaliro bawanjagidde ab’ekitongole ky’ebisolo byomu nsiko ekya Uganda Wildlife Authority , kibataase ku goonya ezibafuukidde ekizibu.
Sentebe w’ekitundu Magidu Ejakule agambye nti goonya zino ziva mu nnyanja Kyoga nezidda ku lukalu, nezitandika okukwata ente n’embuzi era nga kati abaana abagenda okukimayo amazzi bali mu bulabe obutagambika.
Magidu agamba nti baategezaako ku bakulembeze ba district e Kaliro, wabula babadde tebanayambibwa.
Bisakiddwa: Kirabira Fred