Ekibiina ekiddukanya omupiira mu nsi yonna ekya FIFA kizzeemu okulonda Gianni Infantino nga president omuggya ow’ekibiina kino, ekisanja ekirala kya myaka 4 okutuuka 2027.
Gianni Infantino alondeddwa mu ttabamiruka w’ekibiina atudde mu kibuga Kigali ekya Rwanda, era alondeddwa nga tavuganyiziddwa.
Gianni Infantino yalondebwa mu ntebe y’ekibiina kino mu 2016 ng’adda mu bigere bya Sepp Blatter, eyafuumuulwa mu ntebe eno olw’emivuyo omwali n’okubulankanya ensimbi z’omupiira.
Sepp Blatter yafuumuulwa mu 2015, olwo mu 2016 abakulu nebalonda Gianni Infantino okumalako ekisanja ekyo, ate mu 2019 Infantino lweyalondebwa ekisanja kye ekijjuvu ekyasooka.
Mu ttabamiruka wa FIFA atudde e Rwanda, Uganda ekiikiriddwa president wa FUFA Eng Moses Magogo, abamyuka be Justus Mugisha ne Darius Mugoye n’akulira eby’emirimu mu FUFA Edgar Watson.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe