Abadigize beyiye e Lugogo mu Cricket Oval okuwagira ekivvulu ky’omuyimbi Joseph Mayanja Chameleon kyeyatuuma Ggwanga mujje.
Embeera y’obudde ebadde ntebenkevu okwawukanako n’omulundi ogwasooka nga 12 February, enkuba bweyayiika nesuula weema z’abalabi saako siteegi eyali ewundiddwa obulungi.
Chameleone n’aba Biggie events abaategeka ekivvulu ekyo , basalawo okukyongezaayo okutuuka leero nga 24 February era abantu bajjumbidde.#