Abatuuze n’abavubi ku mwalo Bwagu mu gombolola ye Malongo mu district ye Mayuge bawanjagudde ekitongole ekya Uganda wildlife Authority okubayamba ku ggoonya ezibafuukidde ekizibu.
Bagamba nti mu myezi esatu gyokka egiyise bakafiirwa banaabwe 8 nga balyibwa ggoonya.
Abamu zibasanga bagenze kuvuba ate abalala baana n’abakyala ababeera bagenze ku nnyanja okukima amazzi, olw’obutaba na Nnayikondo yonna.
Bisakiddwa: Kirabira Fred