General Edward Katumba Wamala ajjukidde bweguweze omwaka omulamba bukyanga batemu bamukuba amasasi mu bitundu bye Kisaasi mu gombolola ye Nakawa, neyebaza Katonda olw’okumubikkako akasubi.
Obulumbaganyi buno bwaliwo nga 01 June,2021.
Mu ngeri yeemu asabidde emyoyo gy’abafiira mu ttemu lino, okwali muwala we Brenda Nantongo ne dereeva we Haruna Kayondo.
Okusaba kubadde ku kkanisa ya Makko omutukuvu e Kikandwa mu district ye Mukono.
Mu kusaba kuno President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni agugumbudde bannauganda abakyalowooza mu kusabiriza obuyambi okuva mu bakyelupe,abagambye nti balina okutandika okwekolera ku nsonga zabwe .
Museveni agambye nti banna Uganda bangi balowooleza mu kusabiriza kwokka,ebyókukola baabivaako.
Obubaka abutisse Ssaabaminisita Robinah Nabbanja Musaafiiri.
Gen.Katumba Wamala atemye n’evvuunike eryókuzimba ekanisa empya mu kitundu kye Kikandwa.
President Museven wano wasinzidde n’agamba nti ekanisa zirina okutandikawo enteekateeka eziyingiza ensimbi,bave mu bubyokulindanga okuziggyamu ndiga z’ekanisa.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu bubaka bwatise Omumyuka owókubiri owa Katikiro wa Buganda Owek Waggwa Nsibirwa ajjukiza abantu mu ggwanga bulijjo okujukiranga okwebaza katonda, nti kubanga bangi abakolera ebintu nebabitwala ng’ebyabuligyo.
Agambye nti Gen. Katumba Wamala okusalawo okuzimba yekaalu ya Mukama ng’amwebaza,kikolwa kya muwendo.
Mungeri yemu Katikkiro asabye government eyongere amaanyi mu kulwanyisa ebikolwa ebyekko ebyeyongera okukula mu ggwanga, naddala ettemu.
Ssabalabirizi we Kanisa ya Uganda, Dr Steven Samuel Kazimba Muggalu ye atabukidde abalina obuyinza nti basaanye bakomye okukozesa eryanyi erisukkiridde ku buli kintu, nti kubanga kiviirideko abantu bangi ba ssaalumanya ne nnaalumanya okufiirwa obulamu bwabwe.
Gen Eddward Katumba Wamala agambye nti singa tegaali maanyi ga katonda singa mufu, era neyebaza ne banna Uganda olwókumuzangamu amaanyi n’essuubi.
”Nze ani , bwendi bwendi. Ssi lwa maanyi gange oba bukugu nga general nti nasimattuka.Muwulira mu lutalo lwa Russia ne Ukraine ne ba general bafa. Naye nze ani Mukama yambikkako akasubi n’emba nga wendi. Kisa kya katonda nti neyongedde okuwona mu mwoyo ne mu mubiri”.General Katumba Wamala
Abamu ku bantu abetabye ku mukolo guno basabye government okufulumya alipoota mu lwatu abantu bonna bagimanye,okwata ku ttemu lino.
Ensimbi obukadde 500 zezisondeddwa okuzimba e ekanisa etandikiddwa Gen Katumba Wamala e Kikandwa Mukono era evvuunike ly’okuzimba kanisa eno litemeddwa.
Okusaba kwetabyeko abantu bangi ddala okubadde omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa,ababaka ba parliament,abasuubuzi n’abantu abalala bangi ddala.