Bya Ddungu Davis
Ekitongole ekivunanyizibwa ku nsimbi z’okukulakulanya abantu ekya Micro Finance Support Center, kitandise okulondoola n’okusomesa abantu mu bibiina ebyenjawulo abaawebwa ssente zino, okuzuula ensimbi ezibawebwa kyebazikolamu bongere okubakwasizaako okwekulakulanya.
Enteekateeka eno mu Buganda etandikidde mu district ye Butambala, nga district eno yaakawebwa ensimbi obukadde bwa shs 560, mu bibiina 105 ebirimu abantu 3,000.
Bw’abadde akulembeddemu okusomesa abantu ku nkwata y’a
ensimbi, minister omubeezi ow’eby’ensimbi avuananyizibwa kubya micro finance, Haruna Kasolo, agambye nti ensimbi zigendereddemu kulakualanya bantu sso ssi byabufuzi.
Mungeri yeemu omubaka wa Butambala mu paalamenti era Ssentebe waakabondo ka Buganda, Muwanga Kivumbi, asinzidde mu lukungaana luno, naasaba gavumenti okwongera essira mu bintu ebigasiza awamu abantu, okukwatagana naabakulembeze mu kifo kyokusika omuguwa nabo.
Muwanga Kivumbi agamba nti enkola ey’okuwa abantu ensimbi z’okwekulakulanya tebasobola kujiwakanya kubanga ewa abantu esuubi n’okubazaamu amaanyi nti basobola nabo okuva mu bwavu n’okukyusa ebyenfuna by’eggwanga okugenda mu maaso.
Gavumenti ezze eteekawo enteekateeka eziwerako ezigenderera okukulakulanya abantu era nezisaamu sente, wabula amaloboozi gazze gavaayo nti olw’obutasomesebwa kimala abantu nebalemererwa okuzikozesa obulungi.
Muno mulimu enkola nga Entandikwa, bonnabagaggawale, youth livelihood programme n’endala ezizze zisaanawo, kati essira eritadde ku myooga ne Parish model.