Abantu abatannakakasibwa muwendo bafiiridde mu kubwatuka kwa gas cylinder mu kibuga Mbarara.
Ekintu kino kibwatukidde mu katundu akayitibwa Kizungu Zone mu Kibuga Mbarara, okumpi ne Agip Motel.
Embeera ya bunkenke wonna mu kibuga Mbarara némiriraano, era Poliisi wetwogerera yeebulungudde ekifo kyonna nga nábantu ba bulijjo bakungáanye mu bungi okwerolera ogubadde.
Omwogezi wa Poliisi mu bbendobendo lya Rwizi Samson Kasaasira, agambye nti gas cylinder efumba yebwatuse nekuba abantu ababaddewo, era nategeeza nti bakyaliko byebakyakungaana ku mbeera ebaddewo bafulumye alipoota ejjudde.
Embeera ebaddewo ereseewo obunkenke bwamaanyi, ng’abantu basoose kuteebereza nti ebadde bbomu.
Bino webijidde nga wabadde wakayita ssabbiiti bbiri zokka nga bbomu bbiri zikubiddwa mu kibuga ekikulu Kampala, abantu 7 bebafa abalala abasoba mu 30 bakyanyiga biwundu.
Bbomu emu yakubwa kumpi ne Poliisi ya CPS mu Kampala, endala ku Jubilee House okumpi ne Paalamenti.
Poliisi ya Uganda ezze ekyogera lunye nti obutujju buno bukolebwa kabinja ka ADF, akasinziira ku muliraano e Congo okutigomya abantu, nga akabinja kano kaakulirwanga Jamil Mukulu kaakano omusibe.
Olwaleero omwogezi wéggye lya UPDF Brig Flavia Byekwaso, agambye nti Govt ya Uganda ne ginnaayo eya Congo batongozza olulumba ssinziggu, okufufuggaza abajambula ba ADF okubamala mu bibira byé Congo.