President wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Museven Tibuhaburwa, ayanjudde ensonga satu kwagenda okutambuliza ekisanja kye eky`omwaka ogumu, nga ye Ssentebe w’omukago ogwa G77+China, ogutaba amawanga agegattira awamu mu byenkulakulana nekigendererwa eky`okweggya mu bwavu.
President Museven yakwasiddwa obwa Ssentebbe bw`omukago G77+China, okuva eri eggwanga lya Cuba eryabadde nabwo.
Mu kisanja kye eky’emyaka 3 agambye, nti agenda kutambulira ku nsonga satu; Omuli Okwongera ku bikolerebwa nga bayitira mu kugunjawo amakolero, Okugyawo omuziziko ku butale eri amawanga ganamukago, n`okwongera ku bintu ebigasiza awamu abalala Omuli, amasanyalaze, enguudo, nebirala.
Museven abyogedde aggalawo olukungaana lwa G77+China, olumaze ennaku bbiri nga luyindira ku Speke Resort e Munyonyo mu Kampala Uganda.
Ku nsonga y`okwongera ku bintu ebikolebwa, president Museven agambye nti kano kekadde amawanga ga nnamukago gongere okugunjaawo amakolero, aganayamba mu kwongera omutindo ku by’amaguzi byabwe.
Kunsonga y`obutale Mwami Museven agambye nti amawanga ganamukago obudde bunno gawera 134, nti singa buli limu ligyawo omuziziko neriggulirawo linaryo obutale bwalyo, obwavu bwakufuuka olumu.
Wabula Mwami Museven banamukago ababuulidde nti bino byonna byayogeddeko tebasobola ku bituukiriza, singa tebenyigira mu kwongera ku bungi bw’ebintu ebigasiza awamu abalala, omuli amasanyalaze, enguudo n’ebirala.
Bannamukago era Museven abasabye okukuuma emirembe nga tebasogyagana, bwebaba bagala okutuuka ku buwanguzi obwanamaddala.
Okutwaliza awamu enteekateeka zino zonna president Museven nga ssentebe , azaanjudde mu nkungaana ez’emirundi 2 ezibumbujjidde mu Uganda okumala wiiki namba, zaatandika 15 January, 2023 okutuuka nga 22 January,2023.
Kubaddeko olwa Non Aligned Movement (NAM), ne Third South Summit olwa G77 + China
Bisakiddwa: Musisi John