Olukungaana lw’abamulembeze b’amawanga ga Africa olukwata ku kulima n’okusuubula emmwanyi olwatumiddwa G-25 Africa Coffee Summit, lutandika leero nga 08 – 10 August,2023.
Lubumbujjira ku Speke Resort hotel e Munyonyo.
Abakulembeze b’amawanga ga Africa agalima emmwanyi agasoba 25 bebasuubirwa okulwetabamu oba okuweereza ababakiikirira.
Abaatuuse mu Uganda mulimu owa Ethiopia Sahle Work Zewde , omumyuka wa president e Tanzania Dr. Philip Isdor Mpango, omuwandiisi wa cabinet e Kenya Musalia Mudavadi.
Baaniriziddwa minister w’ensonga za president Babirye Milly Babalanda ne minister omubeezi owe ensonga zensi enddala John Mulimba nabalala.
Abalala abasuubirwa ye Angola, Guinea Bissauo, Gabon n’amawanga amalala.
Mu lukungaana luno abakulembeze b’amawanga basuubira okuyisa enkola ey’okugatta amawanga gano eyitibwa Kampala Coffee Declaration n’amateeka aganaagoberwa ku nsonga ey’okutumbuula obulimi bw’emmwanyi.
Okusinziira ku minister w’eby’obulimi Frank Tumwebaze olukungaana luno lwakuyamba amawanga gano okwekubamu tooci n’okusalira wamu amagezi ku ngeri y’okusitula omutindo gw’emmwanyi goongere okuzifunamu ekiwera.#