Bya Issah Kimbugwe
Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, kisazeewo mu ngeri eyenjawulo okukungubagira abadde sipiika wa parliament Jacob Oulanyah.
FUFA erangiridde enteekateeka ey’okujjukira omugenzi nga bawaayo akadde ka ddakiika emu ng’omupiira tegunatandika okumujjukira.
Enteekateeka eno ekwata ku mipiira gyonna egiri wansi wa FUFA egya basajja n’abakazi,okutandika olwaleero nga 6 okutuuka nga 10 omwezi guno ogwa April.
Omwogezi wa FUFA Ahmed Hussein agambye nti ng’emipiira gyonna teginatandika, abazannyi, baddidifi, abawagizi na bonna abali mu kisaawe, omusirikamu akadde ako akaweereddwayo mu mupiira,okujjukira Jacob Oulanyah.
Ahmed Hussein agambye nti omugenzi Jacob Oulanyah abadde mukwasi wa goolo ku ttiimu ya parliament, abadde muyima wa ttiimu ya Acholi province mu mpaka za FUFA Drum, ate yali mugenyi owenjawulo ku mpaka za FUFA Awards ez’omwaka oguwedde eza 2021.