Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA kitongoza enteekateeka namutaayiika ey’ebyekikugu etuumiddwa The FUFA Technical Master Plan, egenda okutambuzibwako omupiira gwa Uganda mu bbanga lya myaka 7.
Namutaayiika ono atongozeddwa President wa FUFA, Eng Moses Magogo ku mukolo ogubadde ku Imperial Royal Hotel mu Kampala.
Namutayiika yayisibwa olukiiko lwa FUFA olw’okuntiko nga 31 August,2023, ate era n’ayanjulwa eri ttabamiruka wa FUFA ow’omulundi ogwe 99 eyatuula nga 7 October,2023 e Moroto.
Enteekateeka eno egenderera okukuza n’okusitula omutindo gw’omupiira gwa Uganda ku kisaawe, naddala okubaangawo ensamba ey’ennono eri ttiimu z’eggwanga.
Namutayiika ono era egenderera okwongera ku bungi bw’abazannyi abagenda mu liigi ezenjawulo eziri mu ku mutindo gw’ensi yonna, okuteekateeka abazannyi okubeera mu biseera ebyeyagaza nga bawummudde omusamba omupiira n’ebirala.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe