Ekibiina ekiddukanya omupiira ogw’ebigere mu Uganda ekya FUFA, kifuumudde abadde omutendesi wa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes, Milutin Micho Sredojevic, ku mulimu guno oluvanyuma lw’enjuyi zonna okutuuka ku kukaanya.
Mu kiwandika ekyakafulumizibwa FUFA, kiraze abakulu bonna basizza kimu nga nkuyege okusazaamu endagano y’omutendesi ono olw’omutindo ogw’ekiboggwe Uganda Cranes gw’ebadde eyolesa ensangi zino.
Munnansi wa Serbia Micho nga wa myaka 54, agenze okugobwa nga yakamala okulemererwa okuyisaawo Uganda Cranes okukiika mu mpaka za Africa Cup of Nations ezigenda okubeera mu Ivory Coast omwaka ogujja 2024.
Micho ku mulimu gwa Uganda Cranes kati agobeddwa omulundi ogw’okubiri, nga kinnajjukirwa nti yasooka okutendeka ttiimu eno okuva mu 2013 wabula n’agobwa mu 2017.
Micho abadde yaddamu okuwebwa omulimu guno mu 2021 kundagano ya myaka 3 kyokka emirundi 2 egy’omudiringanwa Uganda Cranes eremeddwa okukiika mu mpaka za Africa Cup of Nations.
Nga 03 August ,2021 president wa FUFA Eng Moses Magogo yaddamu okwanjulira bannayuganda Micho nga omutendesi wa Uganda Cranes omugya nga adda mu bigere bya Jonathan McKinstry, n’omulamwa ogw’okuyamba Uganda Cranes okukiika mu mpaka za World Cup eza 2026.
Wabula batuuse kumugoba nga omulamwa guno gukyaali mulusuubo. Eekibinja Uganda kyeyatereddwamu mu mpaka ez’okusunsulamu mulimu Algeria, Guinea, Mozambique ne Somalia.
Micho ku mulimu guno abadde amyukibwa Moses Basena, era yasigaddewo okugira ng’akuuma entebe eno.
Micho agenze okugobwa ku mulimu guno nga Uganda Cranes egirese mu kifo kya 92 mu kucanga endiba munsi yonna.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe