Frank Nyakaana Rusa abadde akulira eby’amateeka mu KCCA alondeddwa okugira ng’akolanga ssenkulu w’ekitongole kino ekiddukanya Kampala okudda mu bigere bya Dorothy Kisaka.
Nowere Robert alondeddwa ku ky’obumyuka ate Dr Sarah Zalwango awereddwa okukolanga akulira ebyobulamu mu KCCA.
President wa Uganda Gen.Yoweri Kaguta Museveni Tibuhabulwa ng’asinziira ku alipoota eyakolebwa Kaliisoliiso wa government yafuumudde abadde senkulu wa KCCA Dorothy Kisaka n’omumyuka we David Luyimbazi Ssali, saako abadde akulira ebyobulamu Dr. Daniel Okello.
Kigambibwa nti abasatu bano baalagajjalira emirimu gyabwe, ekyavirako abantu abasuka mu 35 okufiira mu kasasiro eyabumbulukuka e Kiteezi.
Ekiwandiiko ekifulumiziddwa Omuteesiteesi omukulu mu wofiisi ya President Hajji Yunus Kakande, kiweereddwako minister wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda, sabawolereza wa government Kiryowa Kiwanuka, minister omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye, meeya wa Kampala Salongo Erias Lukwago n’abakulu abalala.#