Abadde amyuka bwana mukulu w’ekigo kye Lwebisiriiza mu ssaza ly’ekelezia erya Kiyinda Mityana Rev.Fr.Lawrence Mudduse Yawe aziikiddwa ku lutikko ya St.Noah Mawaggali mu Kiyinda Mityana.
Fr. Mudduse yatomeddwa mmotoka ya Taxi ku kyalo Kyenda ku luguudo lwe Hoima, bweyabadde ava ku mikolo gy’olunaku lw’essaza lya Kiyinda Mityana bweryabadde lijaguza okuweza emyaka 42 bukyanga litondebwawo nga likutulwa ku ssaza ekkulu erya Kampala.
Kigambibwa nti akabenje kaavudde ku mugoba wa bodaboda eyavugisizza ekimama, emmotoka ya taxi n’egezaako okumuwugula, kwekusaabala emmotoka ya father No.UAW 369C.

Wasooseewo ekitambiro kya mmisa ekisomeddwa omusumba w’essaza lya Kiyinda Mityana Bishop Anthony Zziwa, ayogedde ku mugenzi ng’omuntu akozesezza ebitone byonna mukama byeyamuwa awatali kweganya kintu kyonna.
Father Lawrence Mudduse Yawe afiiridde ku myaka 52.egy’obukulu, nga waviiridde mu bulamu bw’ensi abadde akoze ebintu bingi omuli okuwandiika ebitabo, okusomesa , okukola okunoonyereza naddala ku butonde n’ebintu ebirala bingi.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yoomu ku betabye mu kuziika Fr.Mudduse, era asabye abakwatibwako ensonga okukola kyonna ekisoboka okulaba ng’obubenje ku nguudo bukendeera.
Katikkiro agambye nti obubenje bususse okutwala obulamu bw’abantu ng’entabwe eva ku bulagajjavu abasinga bweboolesa nga bavuga ebidduka ku makubo.
Katikkiro Charles Peter mayiga ayogedde ku mugenzi father Lawrence Mudduse nti abadde omu ku bannadiini abatono abasobola okukwanaganya obulungi eddiini n’ebyobuwangwa, n’agamba nti Obuganda busubiddwa nnyo omusajja emmekete.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi