Olutambi lwa film twakola lwakulabisa batuwamba so ssi kukolamu nsimbi -Robert Kyagulany
President wa NUP Kyagulanyi Sentamu asambazze ebyogerwa nti yafuna sente mpitirivu mu firimu eyitibwa Bobi Wine the people’s president.
Kyagulanyi agambye nti firimu baakola yakulabisa babawamba ensi ebamanye nebyebakola so ssi kukolamu nsimbi.
Firimu eraga obulamu bwa Kyagulanyi okuva lweyafuna ekirowoozo ky’okuyingira eby’obufuzi okutuusa lweyesimba ku bwa president bw’eggwanga namayengo gonna agazze gabaawo.
Kyagulanyi firimu eno ajanjudde eri bannauganda ku kitebe ky’ekibiina kya NUP e Makerere Kavule.
Abavuunuzi ba firimu VJ Moon ne VJ Shawo Khan bebagivuunudde mu lulimi oluganda.
Kyagulanyi abuulidde abazze okulaba akatambi kano nti ebikolobero ebikambwe ennyo ebyabatuusibwako tebyatereddwamu, olw’okugoberera amateeka eg’ensi yonna agafuga ebigenda ku mpewo.
Firimu wadde nga abagirabye abasinga obwedda bakulukusa maziga wamu n’okuluma obugigi, yeemu ku ntono ezaalondeddwa okuvuganya mu mpaka za Oscar Award munsi yonna, era nga yakwasibwa aba National geographical films nga bebagirinako obuyinza obwenkomeredde.
Kyagulanyi agamba nti yadde naye Uganda emusula ku mutima nga lufuba yakkiriza ebikolobero ebiri mu fiirimu eno biragibwe ensi, nti kubanga abalala bazenga babibikkirira olw’ebigendererwa ebyokuleka banyiniyo mu buyinike n’okufugibwa obumbula mu kizikiza.
Kyagulanyi akangudde ku doboozi eri bakulembeze banne balabaanga abava ku mulamwa, nti beekube mu mitima bajjukire banaabwe abaafa n’abalala abakyali mu makomera.
Bisakiddwa: Tamale George William