Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere ey’abakazi ey’abazannyi abatasusa myaka 20 egy’obukulu, Ayub Khalifah Kiyingi alangiridde ttiimu ey’enkomeredde y’abazannyi 20 egenda okuzannya ne Mozambique mu mpaka ez’okusunsulamu ensi ezinakiika mu FIFA U20 Women World Cup.
Uganda egenda kutandikira ku mutendera ogwa preliminary, era egenda kuzannya ne Mozambique nga 07 October,2023 mu kisaawe kya kya Campo Da ABB Matola Stadium e Mozambique.
Ttiimu erangiriddwa egendera mu Nnyonyi ya Ethiopian Airlines, ng’egenda kukulemberwamu omukungu wa FUFA Rogers Byamukama.
Uganda bweva e Mozambique, ttiimu zonna zakuddingana nga 13 October,2023 mu kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru.
Ku bazannyi 20 abalangiriddwa kuliko abakwasi ba goolo 3, abazibizi 6, abawuwutanyi 6 n’abateebi 5.
Abakwasi ba ggoolo;
Lilian Nakiirya(St. Noa Girls SS),Sharon Norah Kaidu (Uganda Martyrs Ladies FC), Angella Adeke (Royal Queens FC)
Abazibizi
Patience Nabulobi (Kampala Queens FC), Patricia Nakato Nanyanzi(Rines SS WFC), Desire Katisi Natooro(Asubo Gafford Ladies FC), Faridah Namirimu(Wakiso Hill WFC), Harima Kanyago(UCU Lady Cardinals FC), Sharifah Nakimera (Kawempe Muslim Ladies FC)
Abawuwuttanyi
Krusum Namutebi(Kawempe Muslim Ladies FC), Phionah Nabulime (Kawempe Muslim Ladies FC), Agnes Nabukenya(Kawempe Muslim Ladies FC), Docus Kisakye (Kawempe Muslim Ladies FC), Eva Naggayi(Rines SS WFC), Kevin Nakacwa (Uganda Martyrs Ladies FC)
Abateebi
Hadijah Nandago(Kampala Queens FC), Brenda Munyana (Uganda Martyrs Ladies FC), Margret Kunihira(Kampala Queens FC), Catherine Nagadya(Kampala Queens FC), Kamiyati Naigaga (Asubo Gafford Ladies FC)
Abakungu
Rogers Byamukama – Leader of Delegation
Paul Mukatabala – National Teams Officer.
Ayub Khalifa Kiyingi- Head Coach
Mubarak Kiberu – Goalkeeping coach
Arthur Kyesimira- Fitness Coach
Stella Nankumba- Team Doctor
Ronald Mutebi- Team Pysiotherapist
Joan Namusisi – Team Coordinator
Prossy Nalwadda – Equipment Manager
Aminah Namutebi – Media Officer.
Meddie Ssengendo – FUFA Staff
Daniel Musota – FUFA Delegate
Yousuf Twalla – FUFA Delegate
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe
0