
Bya Issah Kimbugwe
Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA nga bakolaganira wamu nékibiina ekiddukanya omupiira munsi yonna ekya FIFA batongozza enteekateeka egenderedwamu okutumbula omupiira gw’abakazi ogw’ebigere mu Uganda.
Enteekateeka eno etuumiddwa FIFA-FUFA League Development Project.
Etongolezeddwa ku Uganda Christian University e Mukono.
Mu birina okukolebwa mulimu okuwangayo nsimbi, ebikozebwa ku kuzannya omupiira nookubangula banabyamizannyo ku mupiira gw’abakazi.
Ku ntandikwa club zonna 16 eza FUFA Women Super League ziweereddwa set zémijoozi 20, stocks némipiira, era ng’enteekateeka eno yakutuuka mu kibinja kyawansi ekya FUFA Women Elite League.
President wa FUFA Moses Magogo agambye nti tiimu z’abakazi zakwongera omutindo,ogunazisobozesa okuvuganya obulungi mu mpaka z’Africa neezensi yonna.