Ekibiina ekiddukanya omupiira ogw’ebigere munsi yonna ekya FIFA, kirangiridde Morocco, Spain ne Portugal nga ensi ezigenda okutegeka empaka z’ensi yonna eza FIFA World Cup ez’omwaka 2030.
FIFA ekakasiza nti emipiira egirisooka 3 mu mpaka zino, zakuzanyibwa mu mawanga okuli Uruguay, Argentina ne Paraguay, ng’akabonero ak’okujaguza nga bweginaaba giweze emyaka 100 bukyanga empaka zino zitandikibwawo mu 1930.
Eno egenda kubeera World Cup egenda okusookera ddala okuzanyirwa ku semazinga 3 omulundi gumu, okuli Africa, Bulaaya ne South America.
FIFA era ekinogaanyizza nti amawanga ga Asia ne Ocenia gegagenda okukkirizibwa okuteekamu okusaba kwago okutegeka empaka za 2034.
Empaka eziddako okuzannyibwa mu 2026 zakubeera mu America,Canada ne Mexico.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe