Olwaleero nga 6 February lwe lunaku lw’ensi yonna olwassibwawo okulwanyisa omuze gw’okukomola abaana abawala (Female Genital Mutilation).
Mu mawanga mangi naddala mu Africa, okukomola abaana abawala bakitwala ng’ekyobuwangwa, wabula abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu bakitwala ng’okutulugunya n’okutuusa obulemu ku muntu nga bakyusa obutonde bwe.
Wano mu Uganda omuze guno gwawaliriza ne government okuyisa etteeka mu 2010 erigufuula omusango gwa nnaggomola okukekejjula abaana abawala mu mbugo.
Wabula newankubadde etteeka lyaleetebwa, abakkiririza mu bikolwa bino bakyakweka abaana abawala era nebabakekejjula naddala mu bitundu by’e Sebei.
Omulamwa gw’omwaka guno gukoowoola abaami n’abasajja okukwatira awamu okulwanyisa omuze guno.
Olunaku luno lwatandikibwawo ekibiina ky’amawanga amagatte mu kitongole ekitakabanira eddembe ly’abaana.